Amawulire

Abasibe 7 mukomera e Busesa bazuuliddwamu ekirwadde kya Covid-19

Abasibe 7 mukomera e Busesa bazuuliddwamu ekirwadde kya Covid-19

Ivan Ssenabulya

February 24th, 2021

No comments

Bya Abubaker Kirunda,

Abasibe 7 okuva mu komera Busesa eriri mu disitulikiti ye Bugweri bazuuliddwamu ekirwadde kya ssenyiga omukambwe.

Akulira akakiiko ka disitulikiti eno akalwanyisa ekirwadde kino Richard Gulume agambye nti abalwadde bonna bayawuddwa dda era balikubujanjabi.

Gulume era nga ye mubaka wa gavt mu kitundu kino atubuulidde nti ekkomera lino lilimu abasibe abawera 182.

Kati abasibe bonna bagenda kwekebejebwa ekirwadde okumalawo obunkenke obuliwo mu kaseera kano

Gulume era gambye nti bagenda kwongera okunyweza ebiragiro na mateeka okwewala okusasana kwekirwadde mu makomera.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *