Amawulire

Abasibe 234 bebagenda okutuula PLE

Abasibe 234 bebagenda okutuula PLE

Ivan Ssenabulya

March 30th, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa ne Juliet Nalwooga

Ebigezo bya P7 eby’omwaka 2020, bigenda kutandika olwaleero.

Wiiki ewedde ekitongole kyebigezo ku lunnaku Lwokutaano kyalambika abayizi ku mateeka gebatekeddwa okugoberera.

Omwogezi wekitongole kyebigezo mu gwanga ekya UNEB, Jenipher Kalule yakaksizza nti ebigezo batandika okubibunyisa mu gandaalo lya sabiiti okubitwala muzi disitulikiti ezenjawulo.

Abayizi emitwalo 74 mu 9,811 bebewandiisa nga bigenda kukolebwa mu bifo pomutwalo 1 mu 4,300 okwetoloola egwanga.

Kalule yalabudde ku bikolwa byonna ebyokukoppa nokubba ebigezo, nti abazadde, abasomesa nabayizi basaanye okubyewala kubanga gwebanakwatako bakumuvunaana nomukono ogwekyuma.

Mungeri yeemu ekitongole kyamakomera kitegezezza ngabayizi 234 abasibe bwebagenda okutuula PLE owomwaka guno.

Omwogezi wekitongole Frank Baine agambye nti ku bano 58, bagenda kutuliira mu kkomera ekkuliu e Luzira atenga absigadde bali mu bifo ebyenjawulo.

Ebigezo bigenda kutandika olwaleero, nga bagenda kutandika nokubala amakyala ga leero.

Akakwungeezi baakukola Social studies ne diini, atenga bakufundikira olunnaku lwenkya ne Sciemce saako Olungereza.