Amawulire

Abasawo e Mpigi batandise okudduka ku mirimu

Ivan Ssenabulya

March 25th, 2020

No comments

File Photo: Abasawo nga balongoosa omulwadde

Bya Sadat Mbogo

Ngensi eri ku bunkenke bw’ekirwadde kya Covid-19, abasawo mu malwaliro ga gavumenti batandise okugaddukamu.

Omumyuka w’omubaka wa gavumenti e Mpigi Hellen Nsereko alaze okutya olwabasawo n’abakulira amalwaliro mu disitulikiti eno okudduka ku mirimu.

Nsereko agambye nti alambudde amalwaliro mu ggombolola y’e Kammengo okubadde Butoolo Health Center III ne Kampiringisa Health Centre III naye kimwewunyisizza ng’abasawo ebyokujjanjaba baabivuddeko nga n’amalwaliro tegalina balwadde webanaabira ngalo.