Amawulire

Abasawo bekinnansi besambye okugema kwa COVID-19

Abasawo bekinnansi besambye okugema kwa COVID-19

Ivan Ssenabulya

April 9th, 2021

No comments

Bya Musasi waffe

Abasawo bekinnansi mu disitulikiti ye Iganga besambye omulanga gwa RDC, Thomas Matende eyalagidde abasawo bonna okugenda okwegemesa ssenyiga omukambwe.

Uganda yafuna eddagala erigema doozi, emitwalo 96 mu 4,000 era okugema kugenda mu maaso, mu bibinja byabantu abalondobemu.

Kati abamu ku basawo bekinnansi bategezezza banaffe aba Monitor, nti tebajja kukozesa ddagala lino, nga balumiriza nti waliwo ne ddagala eromuddo lyebayinza okukozesa okwejanjaba.

Bano bagambye nti tebajja kuwuliriza mulanga gwabakulembeze, okuli ne Dr Specioza Wandira Kazibwe, eyali omumyuka womukulembeze w egwanga ava mu kitundu kino.

Uganda yakafuna abalwadde emitwalo 4 mu 500 ngabantu 334 bebakafa.