Amawulire

Abasajja e Masindi baloopye abakazi abakuba

Abasajja e Masindi baloopye abakazi abakuba

Ivan Ssenabulya

April 27th, 2021

No comments

Bya Musasi Waffe

Abasajja mu disitulikiti ye Masindi balajanidde wofiisi evunayizibwa ku nsonga zamaka ku disitulikiti, okubataasa ku bakyala baabwe abasusse okubakuba.

Annette Karamagi akulira ensonga zamaka e Masindi agambye nti afunye okwemulugunya okuwerako kuva mu basajja ku nsonga eno.

Agambye nti ku ntandikwa yomwaka guno, mu kubala okwangu yafunga omusango guno buli lunnaku wabulanga abasajja abasinga balina okutya nti tebasobola kwogera okwewala okuswala.

Ensonga ezisinga zaalinga zekuusa ku nkyana ku bintu

Kati Maureen Kyomuhendo omukwanaganya wemirimu mu kitongole kya Masindi Women in democracy akaksizza nti absinga kati basazeewo okuddukira gyebali mu bitongole byobwanakyewa, okuyambibwa.

Kinajjukirwa nti obutabanguko mu maka beyongera okusinga mu biseera byennaku enkulu.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *