Amawulire

Abasajja 3 bafiridde mu mugga Kiira e Kayunga

Abasajja 3 bafiridde mu mugga Kiira e Kayunga

Ivan Ssenabulya

April 26th, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwooga

Poliisi etandise entekateeka z’okunyulula emirambo gyabasajja 3 abagudd mu mugga Kiira, mu disitulikiti ye Kayung olunnaku lwe ggulo.

Enjega eno yabadde ku mwalo gwe Kirindi mu gombolola ye Nazigo, okusinziira ku poliisi.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Ssezibwa, Hellen Butoto akakasizza enjega eno.

Abagenzi kuliko Brian Ssenabulya, ngbalala bategerekeseeko lya Masagazi ne Derrick nga bonna kigambibwa nti batuuze be Kalerwe mu Kampala.

Okusinziira ku berabiddeko, bano babadde bagenze kusamba mupiira ku mwalo gwe Kirindi, wabula oluvanyuma basazeewo bawugemu kwekugwamu nebafa.

Butoto agambye nti emirambo tejinabulukuka, wabulanga batandise ku ntekateeka okunyululayo.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *