Amawulire

Abasadaaka abaana bakutugibwa ku kalabba

Abasadaaka abaana bakutugibwa ku kalabba

Ivan Ssenabulya

April 9th, 2021

No comments

Bya Prosy Kisakye

Abantu abanasingisibwa emisango gyokusadaaka abaana, baakutugibwa ku kalabba.

Ekibonerezo kino kyajidde mu bbago erirubirirdde okulwanyisa ekisadaaka baana, erya Prevention and Prohibition of Human Sacrifice Bill, 2020 nga lyasomeddwa omulundi ogusooka, omubaka we Ayivu mu palamenti Benard Atiku.

Muno mwajiddemu ebibonerezo ebikakali, okwawukana ku kitabo kyamateeka ekyebibonerezo oba penal code Act.

Mu penal code, ekisadaaka kitwalibwa ng’omusango gwobutemu.

Atiku okuvaayo nebbago lino, agamba nti yakyesigamizza kungeri gavumenti gyefubyemu okulwanyisa ekisadaaka baana, nye kigaanye nga waliwo obwetaavu okuvaayo namateeka amalala.

Kati asabye palamenti eyise ebbago lino, nga palamenti eyomulundi ogwe 10, tenagalawo.

Kati omukubiriza wa palamenti Rebecca Kadaga ebbago alisindise mu kakaiiko akamateeka, okulyekennenya.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *