Amawulire

Abasaabaze bawonye okufiira mu kabenje

Abasaabaze bawonye okufiira mu kabenje

Ivan Ssenabulya

October 3rd, 2019

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Poliisi etandise okunonyereza ku ku kabenje akabaddemu baasi ya link ebadde eva e Kasese okudda e Kampala, bweyevulungudde negwa mu kiwonko nerumya abasabaze abawerako.

Okusinziira ku mwogezi wa poliisi yebidduka mu gwanga Charles Ssebabulinde, baasi eno namba UBB 869/R egudde mu bitundu bye Buwalula mu district ye Mityan, mu budde bwekiro.

Agambye nti waddenga tekabadde kabenje kamaanyi, olwokuba temu bafudde naye, abalumiziddwa bangi, era bawereddwa ebitanda mu malwlairo agenjawulo e Mityana ne Kampala.

Omuyiggo ku mugoba wa baasi poliisi egamba nti gugenda mu maaso, nga yadduse oluvanyuma lwakabenje kano.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *