Amawulire

Abantu obukadde 820 munsi yonna beerya nkuta

Abantu obukadde 820 munsi yonna beerya nkuta

Ivan Ssenabulya

October 14th, 2019

No comments

Bya Prossy Kisakye, Abakulembezze b’amawanga eg’enjawulo basabidwa okwongera ku nsimbi ezitekebwa mu ekitongole ky’eby’obulimi okusobola okumalawo ekizibu kye mmere etamala mu bannansi b’amawanga ag’enjawulo.

Bino by’asanguzidwa minister omubeezi ow’eby’obulimi, Christopher Kibazanga bwabadde agulawo olukungana lw’ababaka ba mawanga ga East Africa  olukwata ku mmere nendya ennungi .

Okusinziira kwa alipoota y’e kitongole kye kibiina kya mawanga amagatte eky’emmere ki FAO abantu obukadde 820 okwetoloola ensi yonna  tebalina kyakuza eri olubuto era nga ku muwendo guno okusinga bafirica.

Kibazanga wano wasabidde abakulembezze b’amawanga ga Africa okulwanyisa ekizibu ky’ebbula ly’e mmere.