Amawulire

Abantu obukadde 660 bebalumwa enjala munsi yonna

Abantu obukadde 660 bebalumwa enjala munsi yonna

Ivan Ssenabulya

July 13th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Embeera ku bungi bwemmere munsi yonna, eraze nti ekirubirirwa oba Sustainable Development Goal namba 2 mwebalambika okumalwo enjala ng’omwaka gwa 2030 tegunatuuka, kiyinza obutasoboka.

Embeera eriwo eraga nti abantu obukadde 660 bebali obubi, mu njala era besusa nkuta zamimwa.

Bino byajidde mu alipoota aba Food and Agriculture Organization nebitongole ebiralala okuli, International Fund for Agricultural Development (IFAD), UNICEF, WFP ne World Health Organization gyebafulumizza.

Aipoota eraze nti wabaddewo okweyongera kwenjala mu 2020 nga kyava kungeri ssenyiga omukambwe gyeyakosaamu emirimu.

Ku bantu obukadde 660 abalumwa enjala, obukadde 30 enjala ebaruma yava ku COVID-19.

Okukonziba nakwo kukyaliwo, abantu obukadde 149 ngabsinga baana wansi wemyaka 2020 bebali mu mbeera eno.