Amawulire
Abantu boogende ku ngeri gyebalabamu enkozesa y’omusolo
Bya Samuel ssebuliba.
Mu mwaka gw’eby’ensimbi guno, government yaleeta emisolo egy’enjawulo, gamba nga ku mobile money, ku masimu naddala guno ogwa social media, omusolo ku mwenge namafuta n’ebirara.
Bino byonna bikolebwa kulaba nga government ekendeeza kunkola eyokusabiriza, n’okwewola, eyimirirewo nga yesigama ku musolo.
Wabula okunonyereza okwakolebwa aba Sauti za Wananchi kulaga nti banna uganda abakola ebitundu nga 59% bagamba eby’obulamu byafadda, era nga abasinga tebalaba musolo wegulaga.
Kati twogedeko nabanna Kampala nga twagala okumanya oba bamativu n’enkozesa y’omusolo ogusolozebwa buli mwaka.