Amawulire

Abantu batandise okudda mu byalo

Ivan Ssenabulya

March 24th, 2020

No comments

Bya Ivan Ssenabulya ne Prosy Kisakye

Poliisi yebidduka esiimye abali mu mmotoka ezisabaza abantu, ez’olukale olwokuwuliriza omulanga gwomukulembeze we gwanga.

Omukulembeze we gwanga yalagidde buli mmotoka okuberako sanitiza ne siteegi abantu webanabira engalo, okutangira obylwadde bwa Corona obutasasaana.

Kati bwabadde ayogerako naffe, omwogezi wa poliisi yebidduka Charles Ssebambulidde agambye nti abasing balabise okuba nga kino bakitadde mu nkola, obutataliza naba boda boda.

Kati era abasabye okugondera ekiragiro kya ministry yebyobulamu, okutwala abasabaze abatono, okwewala omugotteko.

Eri aba taxi balagiddwa okusabaza abantu 9.

Mungeri yeemu poliisi y’ebidduka enyonyodde obutabeera wo bwabwe ku nguudo.

Amakya ga leero omusasi waffe yekenenyezza enguudo naddala, eziyingira mu kibuga wabulanga abasirikale batono, songa bebatekeddwa okuteeka mu nkola ebiragiro bya gavumenti eri abentambula ez’olukale.

Kati Charles Ssebambuliidde agambye nti abasirikale baabwe batono ku nguudo, kubanga nakalippagano kebidduka tekaliiyo.

Ate mungeri yeemu abantu abenjawulo wano mu kibuga abatandise okukwtaamu obwabwe, okudda mu byalo.

Bwebabadde bogerako nomusasai waffe ku siteegi ya baasi za Link mu Kampala, abamu bagambye nti mu kibuga tebakyalinamu mulimu, kale tebalaba lwaki bakeranga okwemagazza.

Bagamba nti baakudda embeera bwenaaba eteredde.

Kati akulira entekateeka zaba customa mu kampuni eno, Tom Alinde agambye nti balinyisizza nebisale ngokugenda e Fort-portal mitwalo 3 okuva ku mitwalo 2 zebabaddenga basasula mu mbeera eya bulijjo.

Okudda e Mbarara kati mitwalo 4 okuva ku 2ebisale beya bulijjo.