Amawulire

Abantu bagobye gavumenti y’abanamagye

Abantu bagobye gavumenti y’abanamagye

Ivan Ssenabulya

April 12th, 2019

No comments

Abantu bikumi na bikumi bakyalemedde ku nguudo z’ekibuga ekikulu Khartoum, mu gwanga lya Sudan nga bawakanya obukulembeze obwekiseera obwabanamagye.

Banamagye bawambye gavumenti ya Omar al Bashira, abadde akulembedde egwanga lino okumala emyaka 30, era nebamuggalira.

Balaangiridde embeera eyakazigizigi, wabula nebasubiza nti baakukyusa obuyinza okubuzza mu gavumenti eyabantu babulijjo, oluvanyuma lwemyaka 2, byonna banansi byebakyagaanye.

Kati okuyita mu kiro abantu balemedde ku nguudo, nga bagamba nti munamagaye akulira Ahmed Ibn Auf yoomu, abade mu gavumenti ya Bashir nga minister, kalenga bebamu.

Kati kino kitaddewo obunekeneke, nti amagye bwandigefuka nabantu baabulijjo.

Wabula waddenga biri bityo ate abamu ku banansi bbo bajaganya.

Kkyo ekibiina ttaba mawanga ekya UN ne African Union bisabye wabeewo obuakakmu, mu gwanga lino.

EBYOGEDDWA:

Ebyokwerinda nobutebenkevu bwe gwanga lya Sudan kati biri mu lusuubo.

Okusinziira ku mutapusi era omuspmesa webyobufuzi Prof Mwambutsya Ndebesa, ‘kino kinenyezebwa ku Bashir kubanga yali yatondawo obubinja bwabalwanyi’

Agamba nti egwanga lyandyeyawulamu n’ebadda mu kulwanagana okutakoma.

Ate obwa nakyemalira tebukyalina kifo mu mawanga ga Africa.

Bino byogeddwa omutapusi webyobufuzi Siraje Kifampa, ngamby nti ebigenda birabwako wano na wali nga banasi basindikiriza ba nagwano era banakyemalira ababadde baluddewo kekabonero.

Yye Lord Mayor wa Kampala Erias Lukwago agamba nti Africa, erabika nga ekyali wala nenfuga eya democrasiya.

Bino naye abysigamizza ku banamagye abawambye gavumenti ya Omar al Bashir.

Kati alabudde nti embeera erabika kati edda mu Uganda, kalenga gavumenti ya NRM esaanye, yewale ebinadirira.