Amawulire

Abantu abenjawulo bakungubagidde Haji Musa Katongole

Abantu abenjawulo bakungubagidde Haji Musa Katongole

Ivan Ssenabulya

March 30th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Abantu abenjawulo bakungubagidde, omusubuzi, eyali ssentebbe wekibiina kyebyentambula ekya Uganda Taxi Operators and Drivers Association (UTODA) Hajji Musa Katongole.

Haji Musa Katongole asizza ogwenkomerereo amakya ga leero ku ddwaliro lya TMR International Hospital e Naalya, gyabadde okuva wiiki ewedde.

Ono abadde ajanjabibwa ekirwadde kyomutima.

Kati twogeddeko neyali omumyuka we Chris Ssengooba, natuusa obubaka bwe obwokungubaga.

Amgenzi amwogeddeko ngabadde omusajja omukakamu ateera omukozi.

Abalala abakungubagidde omugenzi ye mubaka wa Kawempe North Latif Ssebaggala ngagambye nti ono abadde mpagi luwaga mu kuzimba obusiraamu nokukulakulanya obuganda.

Moses Mawejje Birungi, omwogezi wekibiina kya Takisi, Kampala Operational Taxi Stages Association (KTOSA) naye agambye nti egwanga lifirirddwa nnyo.

UTODA yatadika eyo mu mwaka gwa 1986, nga bakola ku byenytambula eyolukale mu gwanga okutukira ddala mu mwaka gwa 2012, obutakanya bwewbalukawo abatwala ekibuga aba Kampala City Council nebagaana okuzza obugya endagaano ya UTODA.