Amawulire
Abantu abalala 3 bebakutte kuby’ekyuma kye ddwaliro ekyabbibbwa
Bya Abubaker Kirunda
Poliisi e Jinja eriko abantu abalala 3 bekutte, nga bekuusa ku bubbi bwekyuma kya CD4 ekyabula mu ddwaliro lya gavumenti ekkulu e Jinja.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Kiira Diana Nadaula agambye nti waliwo abakozi mu ddwaliro abakwaibwa, naye nebayimbulwa ku kakalu ka poliisi.
Ate abalala 3 bakwatiddwa ku biragiro byoubaka wa gavumentu mu kitundu kino Eric Sakwa.
Bano poliisi etegezezza nga bwebagenda okuyambako mu kunonyereza.
Ate entiisa ebutikidde abatuuze ku kyalo Bugabula-Buganda mu gombolola ye Bulongo mu district ye Luuka bwebasanze entaana gyebakazikamu nga nkulu, temuli mulambo.
Grace Katumba abadde yazikibwa emyaka 2 emabega nya abatuuze kibaguddeko bwebalabye nga nkalu.
Kati ssentebbe we kyalo James Isabirye agambye nti basubira, abalogo mu kitundu kino nga bebazikudde entaana.