Amawulire

Abantu abalala 11 bakwatibwa ekirwadde kya covid

Abantu abalala 11 bakwatibwa ekirwadde kya covid

Ivan Ssenabulya

June 28th, 2020

No comments

Bya Prossy Kisakye, Minisitule evunanyizibwa ku by’obulamu mu ggwanga erangiridde abantu abalala 11 okuba nga bakwatibwa ekirwadde kya covid-19, omuwendo gw’abakirina gutuuse ku bantu 859

bano bebamu ku sampo z’abantu  3386 ezekebejebwa olunaku lweggulo

okusinzira ku minisitule babiri ku balwadde abappya bagoba ba biloole omu yayingirira kunsalo Mutukula ate omulala e Busia

9 ku balwadde beebo abakolaganako na bagoba be bimotoka, 8 bali mu disitulikiti y’e Amuru ate omulala we  Nwoya district.

waliwo n’abalala abagoba be bimotoka 10 abasangibwa ne kirwadde badizibwayo munsi zaabwe

omuwendo gw’abasimatuse ekirwadde guli ku bantu 794