Amawulire

Abantu 2000 bebakoseddwa enkuba e Bundibugyo

Abantu 2000 bebakoseddwa enkuba e Bundibugyo

Ivan Ssenabulya

July 23rd, 2019

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Amaka 280 n’omugatte abantu 2,834 bebakoseddwa oluvanyuma lwa namutikwa wenkuba eyatonnye mu district ye Bundibugyo mu gandaalo erya sabiiti omwajidde namataba.

Kino kibikuddwa abekitongole ekidukirze ekya Uganda Red Cross, oluvanyuma lwokwekenneenya kwebakoze mu kitundu kino, nga bali wamu nabakulembeze.

Omwogezi wa Redcross Irene Nakasiita agambye nti waliwo namayumba 22, agatwaliddwa enkuba, abaamwo nebatasigaza wekwebaka.

Ebitundu ebyasize okukosebwa kuliko akabuga ke Kirumya, Kirumya East, Bundimagwara1, Bugando 11 ne Habendu.

Kati ekitongole kirabudde nti mu mbeera eno abantu bandirumbibwa ebirwadde ebiva ku buligo nga ekiddukano, omusujja gwensiri, ngokusinga abkyala bembuto nabaana bebali mu kabi.