Amawulire

Abantu 20 bebafiridde mu bubenje

Abantu 20 bebafiridde mu bubenje

Ivan Ssenabulya

August 19th, 2019

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Abantu amakumi 20 bebafiridde mu bubenje obwemirundi 2 obwenjawulo, akawungeezi akayise.

Akabenje akamu kaabadde mu kabuga ke Kyambura mu district ye Rubirizi mu Bugwanjuba bbwe gwanga.

Akabenbje kano kaabaddewo ku ssaawa 10 ezolweggulo, ekimotoka kyamafuta bwekibwatuse abantu 10 nebafa nabalala, abawerako nebajibwawo ngenyindo yenkata.

Omwogezi wa poliisi mu gwanga Fred Enanga agambye nti mmotoka ebadde yetisse amafuta okuva e Mbarara, eremeredde omugoba waayo, nayingirira taxi 2, ekivuddeko ekimotoka okukwata omuliro.

Agambye nti obuduuka obubadde okumpi 25 bwonna bukutte omuliro, era negulanga mita amakumi 30 okuva awabadde enjega no.

Poliisi etegezezza nga bwebagenda okuddamu amakya ga leero okunoonya emirambo, oba oli awo nabayinza okubeera nga bkyali blamu.

Ate akabenje akalala kaabaddemu bus ya kampuni ya YY namba UAY 852/F ne taxi namba UAV 689/X nga muno mufiriddemu abantu 10 nabalala nebatwalibwa mu mawlairo bafuna bujanjabi.

Fred Enanga agambye nti waliwo omugoba wa taxi aabadde ayisa taxi endala, e Namutumba okuva e Iganga namaliriza ngayingiridde bus.

Abasabaze bonna ababdde mu bus batasiddwa, era poliisi egaba ntu tewali aluguzeemu obulamu.

Emirambo 10 kati gitwaliddwa mu gwnaika lye ddwaliro e Iganga okwokebejebwa, ngokunonyereza bwekugenda mu maaso.