Amawulire

Abantu 18 bebafiridde mu bubenje obw’enjawulo

Abantu 18 bebafiridde mu bubenje obw’enjawulo

Ivan Ssenabulya

September 16th, 2019

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Abantu 8 bebafiridde mu kabenje akalala akagudde ku kyalo Nawantumbi ku luguudo oluva e Jinja okudda e Kamuli.

Abantu abalala 9 bebalumiziddwa oluvanyuma lwa taxi UAZ 861/J ebadde eva e Jinja okwabika omupiira netomera owa pikipiki ebaddeo abantu 2.

Ababadde ku pikipiki eno bafiriddewo mbulaga, nababadde mu taxi 6 nebafa.

Mmotoka eno oluvanyuma etomedde omutima gwamasanyalaze.

Aberabiddeko bategezezza ngomugoba wa taxi bwabadde addukira ku misinde gyakaweewo.

Omwogezi wa poliisi mu Busoga North, Michael Kasadha akakasizza akabenje kano, ngabalumiiziddwa bawereddwa ebitanda mu ddwaliro ekkulu e Kamuli gyebafunira obujanjabi.

Kano kekamu ku bubenje obwabadde mu bitundu bya Busoga ku lunnaku lumu, omufiriddemu abantu abali mu 18.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *