Amawulire

Abanene bameggeddwa mu kamyufu- abe Kampala bakaaba

Abanene bameggeddwa mu kamyufu- abe Kampala bakaaba

Ali Mivule

October 28th, 2015

No comments

File Photo:Abakulira ekibiina kya Nrm ngabogeera

File Photo:Abakulira ekibiina kya Nrm ngabogeera

Waliwo ekibinja ky’abawagizi b’ekibiina kya NRM okuva mu Rubaga South abalumbye ekitebe ky’ekibiina kyabwe ku luguudo lwa Kyaddondo nga baagala ebyavudde mu kubala obululu bisazibwemu nga balumiriza nti mwabaddemu okubbira.

Akakiiko k’ebyokulonda ek’ekibiina kya NRM  kategezezza nga welunazibira olunaku olwaleero  nga ebyavudde mu kulonda kw’akamyufu byonna bimaze okulangirirwa.

Amyuka omwogezi w’akakiiko k’ebyokulonda ak’ekibiina kino John Kijaagi agamba okulonda kwabadde mu disitulikiti 92% nga era abyavudde mu kulonda kuNo bikyaggya.

Kijaagi agamba nti ewaabadde emivuyo okulonda kwakuddibwamu olunaku lw’enkya okugyako e Namutumba abalonda olwaleero.

Kijaagi agamba akakiiko akakulemberwa  Alhajji Moses Kigongo kakutekebwawo okutabaganya abanaaba balina okwemulugunya.

Omubaka wa disitulikiti omukyala Dorothy Mpima aganye okukkiriza nti yawanguddwa era wakwesimbawo nga atalina kibiina.

Bino Mpiima abirangiridde ku kitebe kya NRM ku disitulikiti  oluvanyuma lw’omuyimbi Judith Babirye okumumegga.

Mpima alumiriza ab’ebyokwerinda okumulwanyisa nga bagulirira abalonzi.

Wabula ye omuwandiisi w’ekibiina ku disitulikiti James Wasswa ategezezza nga okulonda bwekubadde okwamazima.

Ku kifo ky’omukiise we Bukwe, abadde omubaka  Baker Ssali awanguddwa Sozi Mulindwa

 

Agava e Mukono galaga nga meeya Muyanja Ssenyonga bw’amezze Bakaluba Mukasa oluvanyuma lw’enkaayana ezibaddewo mu kubala obululu.

 

Wano mu kampala akulira ebyokulonda Milton Omuruga alangiridde abaangudde Minsa Kabanda  nga omuwanguzi wa Kampala Central wamu n’abalala.

Mungeri yeemu twogeddeko n’abamu ku bawanguzi okuli Ragadee eyawangudde akamyufu ka loodi meeya ne Katongole Singh owa Rubaga North.

 

Enkayaana mu kamyufu k’ekibiina kya NRM e Kayunga ziwalirizza amyuka ssentebe w’ekibiina kya NRM Alhajji Moses Kigongo okubiyingiramu.

Wabula tekiyambye nyo oluvayuma lw’okubalibwa kw’obululu nga tiyagaasi anyooka.

 

Agava mu buvanjuba bw’eggwanga galaga nga minisita  Daudi Migereko akamyufu bwekamumezze.