Amawulire

Abalwanirizi bóbutonde bawabudde kungeri yokufunamu empewo ennungi

Abalwanirizi bóbutonde bawabudde kungeri yokufunamu empewo ennungi

Ivan Ssenabulya

May 3rd, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe,

Abalwanirizi bobutonde bawabudde bannauganda kungeri yokufunamu empewo ennungi.

Ebibalo bilaga nti munsi yonna abantu obukadde 7 bebafa buli mwaka endwadde eziva kumpewo embi gye bassa songa wano mu ggwanga abantu 300,000 bebafa mu mbeera eno.

Bwabadde ayogerako ne bannamawulire wakati nga Uganda yegasse kunsi yonna okukuza ssabiiti eyempewo ennungi, akulira ekitongole kya NEMA, Tom Okurut, elikka eliva mu motoka lye lisinga okuleeta obuzibu wano mu ggwanga.