Amawulire

Abalwanirizi béddembe basanyukidde okulondebwa kwa Wangadya

Abalwanirizi béddembe basanyukidde okulondebwa kwa Wangadya

Ivan Ssenabulya

July 17th, 2021

No comments

Bya Rita Kemigisa

Abalwanirizi béddembe lyobuntu basanyukidde okulondebwa kwa Mariam Wangadya nga Nnantebe omugya owakakiiko akalwanirira eddembe lyobuntu mu ggwanga aka Uganda Human Rights Commission.

Mu nkyukyuka empya omukulemebeze weggwanga yalonze Wangadya nga Nnantebe wa kakiiko kano okudda mu bigere bya Med Kaggwa eyafa emyaka 3 egiyise.

Mukwogerako ne ddembe FM akulira ekibiina kya Legal service providers Network (LASPNET) Sylvia Namubiru, agambye nti okulondebwa kwa Wangadya kwabadde kumugwana kuba yali akozeeko mu kakiiko kekamu nga kamisona.

Wabula Namubiru agamba nti ono agidde mu kaseera kazibu nyo ngebikolwa ebyokulinyirira eddembe lyobuntu biri waggulu