Amawulire

Abalwanirizi be ddembe bavumiridde eby’abadde mu Arua

Abalwanirizi be ddembe bavumiridde eby’abadde mu Arua

Ivan Ssenabulya

August 14th, 2018

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Ekibiina ekitaba banamwulire ekya Foreign Correspondents Association of Uganda kisabye poliisi okuyimbula, banamawulire abakwatiddwa, mu kanyolagano kabawagizi ne poliisi mu kufundikira campaign zomubaka wa munispaali ye Arua.

Bananawulire okuli Herbert Ziwa owa NTV ne Ronald Muwanga bakwatiddwa, nga baggaliddwa ku CPS Arua.

Bano basabye abobuyinza okusaangawo embeera ennungi eri banamwulire okukola emirimu gyabwe, ate nabakwatiddwa bajanjabibwe.

Mu kanyolagano kano abantu bakubiddwamu amasasi, omuntu omu yeyakakasibwa okuba nti yafudde.

Mungeri yeemua, nabalwanirira eddembe lyabanamauwlire, mu kibiina kyaHuman Rights Network for Journalists Uganda, bavumiridde ebyabadde mu Arua nebitwaliramu nebanamwulire.

Ssenkulu wekibiina kino Robert Ssempala agambye nti kuno kubadde kulinyirira ddembe lyabanamwulire.

Ate aba Foundation for Human Initiative nabo bavumiridde ebikolwa bino.

Bwabadde ayogerako naffe, akulira ekitongole kino Dr Livingstone Ssewanyana agambye kino kiragira ddala, embeera yebyobufuzi etabanguse awatali kuguminkiriziganya.

Ate yyo poliisi egamba nti embeera ezze mu nteeko, mu bitundu bye Arau.

Wetwogerera nga poliisi eriko abantu 34 begalaidde, okuli neyali omubaka Kassiano Wadri, omubaka Gerald Karuhanga ne Paul Mwiru, campaign zomubaka wa munispaali ye Arau bwezibadde zifundikirwa.

Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya West Nile Josephine Angucia wabula agambye nti omubaka wa Kyadondo East Robert Kagulanyi Ssentamu tebanamugalirako.

Ono era akaksizza nti baakutte banamwulire ba NTV 2, okuli Herbert Zziwa.

Ono akaksizza aokufwa kwomugoba we mmotoka yomubaka Kyagulanyi Yasin Kawuma naye agambye nti okunonyererza kukyagenda mu maaso.