Amawulire

Abalwadde bakafuba e Mityana badduka mu malwaliro

Abalwadde bakafuba e Mityana badduka mu malwaliro

Ivan Ssenabulya

May 18th, 2021

No comments

Bya Barbara Nalweyiso,

Abatwala eby’obulamu mu district ye mityana balina okutya olw’omuwendo gw’abantu abatawanyizibwa ekilwadde kya kafuba (TB) abaali banona eddaggala mudwaliiro ekkulu emityana okendeera okuva ekilwadde kya covid-19 lwekyabalukawo mugwanga nga kino kiyiinza okuvirako ekilwadde kino ate okw’eyongera.

Okusinziira ku musawo avunanyizibwa kuby’obujanjabi bw’abaana n’abavubuka kudwaliiro ekkulu emityana Winnie Nakimbugwe agamba nti okuva Covid -19 lweyabalukawo ,abalwadde ba kafuba mu district ey’emityana bekukuma mubyalo gyebawangaliira nebataddamu kugenda
mudwaliiro okufuna eddaggala.

Ono era agamba nti mukawefube ow’okulaba nga batuula ekilwadde ky’akafuba kunfeete bandiwalirizibwa okugenda mubifo eby’olukale omukungaanira abantu nekigenedererwa eky’okulaba nga bazuula abantu abalina obubonero obwa kafuba.