Amawulire

Abalunzi batabuse ku ky’ebeeyi y’amata

Abalunzi batabuse ku ky’ebeeyi y’amata

Ivan Ssenabulya

August 26th, 2019

No comments

Bya Prossy Kisakye, Abalunzi b’ente wansi w’ekibiina kyabwe ekya Livestock Development Forum batiisatiisiza obutaddamu kutunda mata gaabwe eri abamakampuni  bwe batavaayo kukanya ku bisaale .

Nga ayogerako eri bannamawulire mu kampala sentebe wekibiina kino Ben Twine agambye nti ebeeyi y’amata buli lukya yeyongera okugwa nga kati lita emu egula shs 200 ne 500 mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo.

Ono agamba nti ensimbi zino tezigyayo zaabwe zebatekamu kuba abalundira mu ttale batekamu shs 1000 ate abalundira mu biraalo batekamu shs1500 ekitegeeza nti bakolerera kufiirwa teri magoba.

Bano bawadde amakampuni agabagulako amata ennaku 12 baveeyo batuule bakanye ku miwendo gya mata gaabwe oba si ekyo sibakudamu ku gabaguza

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *