Amawulire

Abalina emigabo mu UMEME bagobye Bigirimaana

Ivan Ssenabulya

May 17th, 2018

No comments

Bya Ndaye Moses

Abalina emigabo mu kitongole kyamasanyalaze ki UMEME bagobye erinnya lyomuwandiisi owenkalakalira mu ministry yekikula kyabantu Pius Bigirimana eribadde lireteddwa, okubeera omu kuba director.

Ba shareholders mu ttabameruka waabwe aatudde ku Sheraton Hotel mu Kampala balonze awatali kwesalamu, nebagoba Bigirimana obutatuula ku board.

Bigirimana erinnya lye libadde lireteddwa abekitobgole kya National Social Security Fund nga bebamu kubalaina emigabo mu UMEME.

Kitegezeddwa nti NSSF yesinga emigabo mu Umeme atenga bakolera wanis wa ministry eyekikula kyabantu.

Ssentebbe wa board owa UMEME Patrick Bitature attegezezza nti, erinnya lya Bigirimana baligobye olwenguzi emwetololerako.

Kinajjukirwa nti Bigirimana yayogerwako mu nguzi eyali mu wofiisi ya ssabaminista ku mulembe gwa Amama Mbabazi, wabula oluvanyuma kyakaksibwa nti teyaliiko musango.