Amawulire

Abaliko obulemu bagala buyambi mu muggalo guno

Abaliko obulemu bagala buyambi mu muggalo guno

Ivan Ssenabulya

June 20th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye

Oluvanyuma lwa pulezidenti Museveni okuvaayo nasaawo omuggalo ogw’okubiri mu ggwanga, abakulembeze babaliko obulemu mu district ye Wakiso bawanjagidde president Museveni wamu nebitongole ebyenjawulo okuvaayo bayambe abantu abaliko obulemu wamu nabakadde.

Okusinziira ku Kansala omukyaala akikirira abantu abaliko obulemu kulukiiko lwa district ye Wakiso Omumbejja Mazzi Deborah Nakayemnga agambye nti omugalo ogwasooka baali betegese wabula nga kuluno babadde tebetegese nga taki abantu abaliko obulemu tebalina kyakulya nasaba babakwatizeeko.

Mungeri yeemu Mumbejja Mazzi asabye president Museveni okutunula muministry yebigwa tebiraze ayambe abantu abaliko obulemu wamu nabakadde kubanga embeera gyebalimu esaawa eno mbinyo.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *