Amawulire

Abalamuzi beesambye omusango gwa Kyagulanyi

Abalamuzi beesambye omusango gwa Kyagulanyi

Ivan Ssenabulya

January 19th, 2021

No comments

Bya Ruth Anderah, Abalamuzi 2 okuli Esta Nambayo ne Musa Ssekaana bagaanye okuwuliriza omusango, ogusaba okuyimbulwa kwa Robert Kyagulanyi Ssentamu ne mukyalawe Barbra Kyagulanyi Itungo.

Bano mu nsonga zebawadde, bagambye nti tekijja kulabika bulungi, kubanga baali bawuliddeko dda emisango era ejirimu Kyagulanyi nekibiina kya NUP.

Bagambye nti abamu bandikitwala nga kyekubiira.

Bannamateeka bekibiina kya NUP olwaleero bakedde kuddukira mu kooti nga bagala ekake ssabawolereza wa gavumenti, omuddumizi w’amaggye g’eggwanga ne Ssabapoliisi okuleeta omuntu waabwe mu kkooti, eyavuganya ku bukulembeze bwe gwanga Kyagulanyi Ssentamu ne mukyalawe nga balamu obanga bafu.

Mu mpaaba gyebatadde mu kooti enkulu nga bakulembeddwamu Anthony Wameli ne Geoffrey Turyamusiima bagala kkooti eyise ekiragiro ekireeta abantu bano kubanga bamaze ennaku nga tebalabwako.

Bano bagamba nti omuntu waabwe yasemba okulabwako ku lunnaku lwokulonda, ngokuva olwo kye bawulira nti aggaliddwa mu makage e Magere, abamagye ne poliisi tebakkiriza muntu yenna kugendayo.

Bannamateeka bagamba nti kino kimenya mateeka era kulinyirira ddembe lye eryobuntu.

Mu musango guno era bagala waberewo gavumenti okuliwa olwengeri gyebakosezaamu omuntu waabwe

Kati oluvanyuma munnamateeka Anthony Wameri, atubuliidde nti omusango guwereddwa, omulamuzi Mike Erubu, yagenda okubawa olunaku.