Amawulire

Abalala bafunye omusujja gw’enkwa- Kuliko owe Nansana

Ali Mivule

August 26th, 2013

No comments

Congo fever

Omuntu omulala kikakasiddw anti alina omusujja oguva nkwa z’omu nsiko ogumanyiddwa nga Congo Crimean Hemorrhagic Fever.

Ono ali mu ddwaliro e Mulago ng’agyiddwa Nansana

Yasin Kalungi yeeyali bba w’omukyala eyafa obulwadde buno sabiiti ewedde

Omwogezi w’eddwaliro lye mulago, Enock Kusaasira agambye nti omusajja ono mu kadde kano bamwawudde nga bw’ajjanjabibwa

Bakuddamu okumwekebejja kyokka ng’ate ab’oluganda lw’omukyala eyafa abalala 3 bbo basiibuddwa oluvanyuma lw’okukakasa nti tebabulina

Mu ngeri yeemu,okuvaako mu district ye Agago awaava ekirwadde kino, abantu abalala 2 kikakasiddwa nti babufunye

Bano bali mu ddwaliro lye Kalongo

AKulira ebyobulamu ku district, Dr Emmanuel Otto agamba nti bano beebamu ku bantu 21 ababadde bekebejjebwa

Bbo abakugu okuva mu ministry y’ebyobulamu bakyabangula abantu ku kirwadde kino.

Ekirwadde kino ekyefananyirizaako n’ekya Ebola kiva ku nkwa eruma ekisolo olwo omuntu n’abujja ku nsolo

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *