Amawulire

Abalala 5 bakaksiddwa okubeera ne COVID-19

Ivan Ssenabulya

March 25th, 2020

No comments

Bya Damalie Mukhaye

Ministry yebyobulamu eriko abantu abalala 5 bekakaksizza okubeera nekirwadde kya COVID-19, kankano omuwendo gulinye okutuuka ku bantu 14.

Ekirwadde kino kiretebwa akawuka akasirikitu aka coronavirus, nga kati katabadde amwanga agawerako era nekatuga bangi.

Bwabadde ayogerako eri egwanga ku kitebbe kya UBC ku Nile Avenue mu Kampala, akulira ebyobujabjabi mu ministry yebyobulamu Dr. Henry Mwebesa agambye nti kuno kuliko omusajja owemyaka 63 nga mutuuze we Najjanankumbi mu Kampala, nga yagendako mu gwanga lya Germany gyebuvuddeko nakomawo.

Abalala ye mwana owemyezi 8 e Iganga ngono kitaawe kigambibwa nti yagendako mu Kenya e Kisumu namala nakomawo.

Atenga owokusatu ye musajja owemyaka 57 omusubuzi mu district ye Adjumani, wabylanga ono tagendako bweru wa gwanga, wabula kisubrwa nti yabuuka nekirwadde kino mu mirimu gye egyokusubula omunnyo.

Dr. Mwebesa agambye nti abantu bano 3 bonna bannaYuganda.

Abalala 2 banansi ba China abamu ku bali 6 abaali, badduse mu Qualanatini nebabakwatira mu district ye Zombo.

Mungeri yeemu abantu emitwalo 20 mu 661 bann-Uganda ababadde bakadda mu gwanga basobodde okuzuulwa webali, okubwula ku banatu abalala.

Ku bano abantu 1 mu 400 bamazeeyo ebbanga lyabwe erya wiiki 2 mu qualanatini era bawereddwa satifikeeti ekakakas okwawulwa kwebabaddemu.

Wabula Mwebesa asabye abantu okubeera abakakamu, nti embeera ebali mu ttaano.

Okusinziira ku kitongole kyebyobulamu ekya WHO ebibalo ebyawamu biraga nti abantu emitwalo 43 mu 5,366 bebalwadde mu nsi yonna.

Ate abantu omutwalo 1 mu 9,618 bekafa songa emitwalo 11 mu 1,870 bebakawona.