Amawulire

Abakyaliwo basomozeddwa okukuuma emirimu gya Ssabasumba Lwanga

Abakyaliwo basomozeddwa okukuuma emirimu gya Ssabasumba Lwanga

Ivan Ssenabulya

April 8th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Banna-Uganda bonna basabiddwa okukola enno, okukuuma emirimu amakula egikoleddwa abase Ssabasumba we’ssaza ekkulu erye Kampala Dr. Cyprian Kizito Lwanga.

Omulanga guno gukubiddwa ssentebbe owolukiiko lwabe-Episcopal mu Uganda, nga ye musumba we’ssaza lya Kiyinda-Mityana Joseph Anthony Zziwa, mu mmisa eyokusibula omugenzi ku lutikko e Rubaga.

Agambye nti Ssabasumba akoze omulimu gwe, ngogusigalidde guli eri abasigadde nga balamu nokumuyigirako.

Dr. Cyprian Kizito Lwanga agenda kuzikibwa munda mu kkerezia, okulinaana omulabirizi eyasooka Dr Joseph Kiwanuka ne Edward Michaud.

Bagenda kumuziika olwaleero, nga 08th April 1978 nga lwerunukkalu lwennyini lweyatuzibwa ngomuwereza wa kkereziya, omugenzi kaidinaali Emmanuel Nsubuga.

Omubiri gwomugenzi, gwatusiddwa ku lutikko, mu bukuumi bwa poliisi, wakati mu namungi w’omuntu azze okwetaba mu kuziika kuno, n’okumukubako eriiso evanyuma.

Mu kusooka, abantu bawereddwa omukisa, buli omu okugenda okumukubako eriiso evvanyuma, songa abantu 500 bokka bebayitiddwa okwetaba mu kuziika kuno.

Abebitiibwanjolo abetabye mu kuziika kuno okuva mu gavumenti eya wakati nemu Bwakabaka bwa Buganda, okuli Owek. Edward Ssekandi, Maama wa Buganda Silvia Nagginda nabalala.

Mungeri yeemu, omulwanirizi we’ddembe lyobuntu Miria Matembe agamba nti omugenzi Dr. Lwanga afudde atukiriza omulimu ogumwatumwa.

Matembe agambye nti kyabwa-Katonda omuntu bwawereza obulungi amautwala, okumuzaayo gyali.

Agambye nti bakoledde wamu okumala ebbanga, okulwanirirra eddembe lyobuntu, n’okutekawo obwenkanya.

Ssabasumba Lwanga yasangibwa nga yafudde munda mu kisenge kye, ku lunnaku Lwomukaaga, ngabasawo bazudde nti yafa kirwadde kya mutima.