Amawulire

Abakyala basiimye kabineeti empya

Abakyala basiimye kabineeti empya

Ivan Ssenabulya

June 10th, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Abakyala basiimye omukulembeze we’gwanga olwokubalonda mu bifo ebiwerako kubwa minisita.

Mu kabineeti eyalondeddwa omukulembeze we’gwanga, abakyala bafunye ebifo ebiwerako ebyawaggulu.

Kati bwabadde ayogerako naffe akulira kitongole kya Centre for Constitutional Governance Sarah Bireete, agambye nti okulonda abakyala mu bifo ebya waggulu lyekkubo ettuufu okuletawo omwenkano.

Kino agambye nti kitukiriza bulungi obweyamu bwebakola eri omukago gwa African Union, gavumenti okuberamu abakyala 50-50.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *