Amawulire

Abakwasisa Amateeka Bavunaniddwa Olw’okufa Kwo’mutembeeyi

Ivan Ssenabulya

August 10th, 2017

No comments

Bya Ruth Anderah

Abakwasisa amateeka aba KCCA 4, abagabibwa nti bebagoba omutembeeyi natuuka okugwa mu mwala gwe Nakivubo nafa, avunaniddwa mu kooti mu maaso gomulamuzi we Nakawa.

Bano kuliko, Tito Kagiri, Eria Wasswa, Moses Tebyasa ne Faruk Mpiima nga baleteddwa mu maaso gomulamuzi Lillian Buchana.

Basomeddwa omusango gwa kutta Muntu mu butali bugenderervu, wabula omusango nebagwegaana.

Bano kigambibwa nti bagobaganya omutyembeeyi Oliver Basemera nobukambwe obwetalo nagwa mu mwala nafa ngennaku zomwezi 4th omwezi guno omwaka 2017.

Kati bano basabiddwa akakalu ka kooti ka mitwalo 50 ezobuliwo buli omu, ate obukadde 3 ababbeyimiridde ezitali za buliwo.

Balagiddwa okudda mu kooti ngennaku zomwezi 21st omwezi guno, bamanye oludda oluwaabi kyerunaaba lubategekeddeyo.

wabula omuwaabi wa gavumenti Anne Ntimba ategezezza kooti nti okunonyererza kwa poliisi kukyagenda mu maaso.

Wabula Minister wa Kampala Betty Kamya olwaleero alabula nti okufa kwomukazi ono omutembeeyi tekitekeddwa kubeera kyekwaso, abatembeeyi okudda ku nguudo.

Bwabadde ayogera ko ne bannamwulire, ku Media Center olwaleero, Betty Kamya ategezezza nti afunye okwemulugunya ku basubuzi abomu madduuka olwabatembeeyi abazeemu okweyiwa ku nguudo mu bbanga lino ettono.

Kamya ategezezza ngekitongole bakungugaira wamu ne gwanga kulwomukyala ono eyafa wabula akalambidde nti abakwasisa amateeka aba KCCA ssi bebamutta kubanaga ssi bebamugamba addukire mu mwala.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *