Amawulire

Abakuumi bakwatiddwa kubya ambuleensi ye ddwaliro

Abakuumi bakwatiddwa kubya ambuleensi ye ddwaliro

Ivan Ssenabulya

April 1st, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwooga

Poliisi mu Arua eriko abakuumi mu kampuni yobwananyini 3 bekutte, ababadde bakuuma ku ddwaliro lya gavumenti erya Arua Regional Referral hospital ku misango gyokubba, mmotoka kika kya Agafa-e Mulago oba Ambulance.

Kigambibwa nti ambulance eno, kika kya land cruiser namba UG 6812/M yabula okuva mu parking ye ddwaliro mu kiro kyanga 27 March 2021 era omusango negulopebwa ku poliisi ku Bbalaza nga 29 March 2021.

Omusango gwalopebwa Avaga Johnstone Norman, owemyaka 35 nga yakulira ebyokwerinda ku ddwaliro lino.

Kati abakuumi 3 abaali ku mulimu mu kiro ekyo, bakwatiddwa bayambeko mu kunonyereza kwa poliisi.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya West Nile, Josephine Angucia agambye nti okubakwata kigendereddwamu, obutagotaanya okunonyereza okugenda mu maaso, atenga betaaga babayambeko okubaako byebanukula ebyenjawulo.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *