Amawulire

Abakuumi babiri batiddwa e Bugoloobi

Abakuumi babiri batiddwa e Bugoloobi

Ivan Ssenabulya

June 2nd, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwooga

Ebyentambula bisanyaladde e Wankoko mu kitundu kye Bugolobi oluvanyuma lwemirambo gyabasajja ebiri okuzuula mu kitundu ekyo.

Bano bakuumi mu kitongole kyobnanayini, nga kigambibwa nti battiddwa mu kiro ekikesezza olwaleero.

Abagenzi kuliko Andama Kennedy abadde atemera mu myaka 50 ne Godfrey Wopugurwa owemyaka 48, nga babadde bakuumi mu Security Group Africa.

Bano batiddwa emmundu kika kya SAR, ng’esangiddwa mu kifo namasasai 7.

Ronald Balimwezo, omubaka wa Nakawa East mu palamenti ne Moses Mugisha Okwera eyali kansala ku KCCA bagambye nti batebereza nti obutemu buno bwekuusa ku ndoliito wakati wabagagga Mandela ne Kamwanyi, nga Balimwezo agambye nti omweziogwedde waliwo abavubuka okuva mu kifo ekyo abamutukirirra nebamutegeeza nga baali babasindikiriza.

Amyuka, omwogezi w poliisi mu Kampala nemirirwano Luke Oweyisigirye akaksizza obutemu buno nategeeza nti ekitundu kino kiriko enkayana.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *