Amawulire

Abakuuma dembe n’abakungu ba gavumenti entuuyo zibakamuse .

Ivan Ssenabulya

April 17th, 2018

No comments

Bya Samuel Ssebuliba ne Ruth Anderah.

Leero E mbaale ewali omusango ogw’okujja ekomo ku myaka gy’omukulembeze we gwanga , abantu abawerako leero balabiseeko mu kooti eno okubaako byebattangaaza,

Abamu kubalabiseeko kuliko omuwandiisi ow’enkalakalira mu ministry ekola ku byensimbi Keith Muhakanizi, ayali aduumira police ya Kampala Frank Mwesigwa, Aduumira ebikwekweto bya police Asuman Mugyenyi, aduumira amagye Gen Devid Muhoozi, akulira eby’okwerinda bya Police Muhamad Kagoya, kalani wa parliament Jane Kibirige, omuwandiisi wa   Cabinet  John Mitala ko n’omubaka Betty Nambooze.

Kati wakati mumusango guno n’abalamuzi batabukidde aduumira ebikwekweto bya police Asuman Mugyenyi  nga baagala okumanya gyeyajja obuyinza obugaana ababaka ba parliament okwebuza ku bantu baabwe.

Asuman akunyiziddwa ku bujulizi obwaletebwa akulira oludda lwa government Wiine Kizza, nga agamba nti ono yawandiika ebaluwa nga abagaana okwebuza kubantu nadala nga batambula kirindi, kyoka nga speaker yali abakirizza.

Ate ye eyali aduumira police ya kampala Frank Mwesigwa  agambye nti kituufu yeyaduumira ekikwekweto kino, wabula nga yamala kufuna kubaugulizibwako okuva eri akulira ebyokwerinda bya parliament.

Ate yye  omuwandiisi ow’enkalakalira mu ministry eno Keith Muhakanizi  agambye kooti nti  eky’okuyisa eteeka ku myaka gy’omukulembeze we gwanga, ko n’okwongezaayo ekisanja okuva ku myaka etaano  okudda ku myaka musanvu kyataasa egwanga ensimbi ezandigenze mu kutegeka akalulu mu mwaka 2021 ku mitendera gyonna.

Mubalala abalabiseeko ye mubaka wa munisipaali eye Mukono Betty Nambooze , era nga yeyasoose okuwa obujulizi mu musango guno.

Kati ono abuziddwa lwaki balemera mu palamenti, waddenga ekiragiro kya sipiika kyali kiyise bano okufuluma olwokusiwuuka empisa.

Mukwanukula Nambooze agambye nti tebaweebwa mukisa, okufuluma olw’abantu abagambibwa okubeera ab’ebyokwerinda abaali babazinze.