Amawulire

Abakulembezebasabye bannauganda kunteseganya

Abakulembezebasabye bannauganda kunteseganya

Ivan Ssenabulya

August 19th, 2019

No comments

Bya Juliet Nalwoga, Gavumenti yeyamye okulaba nga okulonda okusuubirwa mu mwaka gwa 2021  kuba kwa mirembe n’obwenkanya.

Bino bibadde mu bubaka bwa Ssabaminister w’eggwanga Dr.Rukakana Rugunda  bwatise minisita omubeezi ow’ensonga za  Karamoja Moses Kizige mu bikujjuko eby’ekibiina kya CCEDU nga kiweeza emyaka 10 bukya kitandika okuweereza.

ono asabye ebitongole ebikuuma ddembe okukolaganira awamu okulaba nga kino kitukibwako

 

Rugunda  asiimye ekitongole kya CCEDU okuyimirira ku bwenkanya mu bikwekweto byabwe n’ebitongole bya gavumenti mu ku bunyisa enjiri y’okwewandiisa n’e kitongole kya NIRA.

Mungeri yemu abakulembeze abalala abetabye ku mukolo guno okubadde Maggie Kigozi atuula ku kakiiko ka bakadde, nomukulembeze wekibiina kya DP Nobert Mao basabye bannauganda okuwagira okuteeseganya ezigenda mu maaso mu ggwanga nekigendererwa ekyokubaawo obumu mu ggwanga lino