Amawulire

Abakulembeze ku muzikiti e Kibuli bogedde ku kulekulira kwa Ndirangwa

Abakulembeze ku muzikiti e Kibuli bogedde ku kulekulira kwa Ndirangwa

Ivan Ssenabulya

April 3rd, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Obulembeze bw’obusiramu ku Kasozi Kibuli bukakasiza nti emirimu gya office ya Supreme mufuti kitambula kinawadda ne wankubadde eyabadde Supreme mufuti Sheikh Kasule Ndirangwa yawumudde emirimu gino.

Kinajjukirwa nti akawungezi k’olunaku lw’eggulo Sheikh Sirimaan Kasule Ndirangwa yalangiridde mu butongole nti alekulidde emirimu gy’obwa supreme mufuti okuwa abasiramu abalala omwaganya nabo okuwereza obusiramu.

Olwaleero abakulembeze b’obusiramu e Kibuli nga bakulembedwamu omumyuka wa supreme mufuti Shiekh Muhammod Kibaate, bogeddeko eri abamawulire mwebategereza nti emirimu mu office ya supreme mufuti gitambula kinnawadda era nebasaba abasiramu bonna okusigala nga bakakamu nga bwebalinda ekiva eri olukiiko lwa bakulu olwa AYATULI KIBAALU ALI ULAMA.

Abadde Supreme mufuti Sheikh Sirimaan Kasule Ndirangwa abadde ku bukulu buno okuva mu 2015 lwe kwata entebe eno okuva ku mugenzi Sheikh Zubair Sowedi Kayongo

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *