Amawulire

Abakulembeze beeralikiridde ku bazadde abatafaayo ku baana abaliko obulemu

Abakulembeze beeralikiridde ku bazadde abatafaayo ku baana abaliko obulemu

Ivan Ssenabulya

April 3rd, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya,

Amyuka akulira omuzikiti omukulu mu disitulikiti ye Mukono Sheikh Salim Gwamba alaze obwennyamivu olw’omuwendo gw’abaana abasuulibwa ababeera bazaaliddwa nga baliko obulemu ogweyongedde mu kibuga Mukono, olw’abazadde abatanudde okusuulawo obuvunanyizibwa bwabwe n’abamu ne babaleka mu mayumba.

Ono asinzidde ku ssomero lya Good Samaritan erirabirira abaana abaliko obulemu, ab’ekibiina kya Moslem Hope Uganda bwe babadde bagenze okudduukirira abaana bano abaliko obulemu n’akuutira abazadde okufaayo eri abaana baabwe be bazaala nga balina obulemu ate era babayambeko okubaako bye beekolera ebiyinza okubafuula ab’obuvunaanyizibwa.

Omu ku balabirira abaana bano Fred Migadde, aliko okusoomozebwa kw’anyonyodde kwe basanze nga balabirira abaana bano n’asaba gavumenti wabeewo enteekateeka ekolebwa naddala mu malwaliro ga gavumenti okubateerayo abasawo abategeera obulungi olulimi olw’obubonero abasobola okujanjaba abaana abeekikula kino.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *