Amawulire

Abakulembeze bajjukiziddwa okulwanyisa enkyukayuka y’obudde

Abakulembeze bajjukiziddwa okulwanyisa enkyukayuka y’obudde

Ivan Ssenabulya

April 22nd, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Ssabawandiisi wekibiina kyamawanga amagatte, António Guterres aambye nti wakyaliwo obwetaavu okwongera okulwanyisa akatyabaga akava ku nkyukakyuka yobudde.

Bino abitadde mu bubaka bwe eri ensi ku lunnaku olwaleero, olwa World Earth Day ngagambye nti ssente ezitekebwa mu byobutonde bwensi zetaaga okwongerwako.

Guterres agambye nti okubuguma kwensi kwetaaga okukumibwa ku degree 1 nekitundu, najjukiza ensi ku ndagaano eyakolebwa mu kibuga Paris mu gwanga lya Bufalansa.

Agambye nti endaago eno nnungi esobola okuyitwamu okutaasa ensi obutasanawo, olwenkyukakyuka yobudde.

Wabula alina essuubi nti mu ttabameruka wabakulembeze bamawanga ga naggwa dda, mu mukago gwa G7 anatuula mu June, nti bakwejukanya ku buvunayzibwa okusonda ssente, nga bwebeyama okulwanyisa akatyabaga kenkyukakyuka yobudde.

Abakulembeze abateeka emikono ku ndagaano ye Bufalansa, beyama okubaga entekateeka mu mawanga gaabwe, okulwanyisa enkyukakyuka yobudde, nokuddangamu okujikubamu toochi buli luvanyuma lwemyaka 5.