Amawulire

Abakulembeze babavubuka mu Buganda begaanye eby’okwekalakaasa

Abakulembeze babavubuka mu Buganda begaanye eby’okwekalakaasa

Ivan Ssenabulya

April 19th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Olukiiko lwabavubuka mu Buganda, olwa Buganda Youth Council besamudde amaulire agegenze gasasana ku mitimbagano, nga bakunga abavunbuka okwekalakaasa.

Okuyita ku mitimbagano, babade bakunga abavubuka okugumba ku kitebbe kyobwakabaka e Bulange Mmengo okuwakanya embeera yobulamu bwa Kabaka Ronald Muwenda Mutebi 11, embi.

Mu kiwandiiko ssenebbe olukiiko lwabavubuka, Baker Ssejengo kyafulumizza agambye nti tebalina ntekateeka yonna eyokwekalakaasa.

Agambye nti ababiri emabega, banatu bakyamu abagala okwawulayawula mu bantu ba Ssabasajja, nokugotaanya enkulakulna nyobwakabaka.

Ssejengo asabye abavubuka mu bibiina mwebegattira, okuli Nkobazambogo, Ssuubi lya Buganda, Baganda Nkerettanyi, Akeezimbira, Ggwanga Mujje, Buganda Bumu, Abagalagala, Kabaka Mwennyango, nebiralala obutawuliriza banatu abo.

Wiiki ewedde, Kamalabyonna wa Buganda Kattikiro Charles Peter Mayiga naye yawakanyizza amawulire, agabadde gasasana ku mitimbaanoi nti Omutanda yaweebwa obutwa.

Obukosefu bwa Kabaka Mutebei, yagambye nti bwava ku allagi.