Amawulire

Abakulembeze ba UYD 3 bagombedwmu obwala

Abakulembeze ba UYD 3 bagombedwmu obwala

Ivan Ssenabulya

January 5th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Abakulembeze ba bavubuka ba musaayi muto ba DP aba Uganda young Democrats 3 bagombedwamu obwala poliisi bwebabadde batwala ekiwandiiko eri sipiika wa Rebecca Kadaga, nga bemulugunya ku bukambwe obukolebwa ku besimbyewo nábawagizi baabwe wakati mu kuwenja akalulu

Mu kwogerako ne bannamawulire ku kitebe kye kibiina mu Kampala nga tebanayolekera palamenti, pulezidenti wa UYD, Ismael Kirya, yekokodde ebikolwa bya bakuuma ddembe omuli okukwata nókusiba abantu mu ngeri etategerekeka nga kwogase okulinyirira eddembe lyóbuntu naddala ku bavubuka abali mu byóbufuzi

Wano wasabidde Kadaga ayingire mu nsonga eno alagire abakuuma ddembe bonna abaze batulugunya abantu bakwatibwe era bavunanibwe kinoomu.

Oluvanyuma lwokwogera ne bannamawulire bano batambuza bigere okutwala ekiwandiiko kyabwe wabula poliisi tebaganyiza ku kituusa wa kadaga ne bakwata awo ku parliamentary avenue.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu kampala ne miriraano, Luke Owoyesigire akakasiza okukwatibwa kwabano

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *