Amawulire

Abakugu mu bulwadde bwémitwe sibamativu

Abakugu mu bulwadde bwémitwe sibamativu

Ivan Ssenabulya

June 2nd, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Abakugu mu kujanjaba endwadde ze mitwe belalikirivu olwobutaba námuwendo gwa bakugu gumala, ensimbi námawulire oba ebibalo ebikwata ku balwadde abekikula kino.

Bano bagamba nti kino kitataganya entekateeka n’enzijanjaba eri abalwadde babwe songa omuwendo gwa batabufu bémitwe gweyongedde.

Okusinzira kwámyuka kamisona avunanyizibwa ku nzijanjaba eyabantu abalina obuzibu ku bwongo, mu minisitule eyebyóbulamu Dr Hafsa Lukwata, Uganda mu kiseera kino terina mawulire gamala ne bibalo ku balwadde bano okuva ku kunonyereza okwakolebwa emyaka 10 egiyise.

Ono agamba nti nénsimbi ezibaweebwa okukola ku balwadde bano ntono ddala songa n;abakugu mu bulwadde buno bamuswaba.

Dr Lukwata okwogera bino abadde mu kutongoza entekateeka eyokuzaawo emirembe mu disitulikiti 14 eza Uganda ezisingamu abantu abalina obuzibu ku bwongo ewomedwamu omutwe ekitongole kya TPO-Uganda ne Safer world.

Bano bakubudabuda abalina obuzibu ku bwongo nga babawa obuyambi obwekikugu.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *