Amawulire

Abakugu bawakanyizza ekya gavumenti okwediza Busoga Univasite

Abakugu bawakanyizza ekya gavumenti okwediza Busoga Univasite

Ivan Ssenabulya

July 19th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Banabyanjigiriza basabye gavumenti nti ebunyise amatabi gaazi univasite zaayo, mu bitundu bye’gwanga ebyenjawulo.

Kino kidiridde gavumenti okutwala obwananayini ku ttendekero lya Busoga University, ababadde babanjibwa obwumbi 15.

Omukulembeze we’gwnga Yoweri K. Museveni yeyamye nti bagenda kusasaula abanja gaabwe, nokuddamu okuzimba ettendekero lino.

Yagambye nti kiri mu ntekateeka yaabwe nga gavumenti ya NRM, okubeera ne ttendekero lya gavumenti mu buli kitundu ekyobwgagavu bwengwanga, ngabafuzi bamatwale bwebaali bakitekateeka.

Bwabadde ayogerako naffe, Ssabawandiisi wekibiina Federation of Non-State Education Institutions Patrick Kaboyo annyezza gavumenti olwenkola eno.

Agamby nti univasite eziriwo zezetaaga okweyambisibwa, okuzikozesa okutwala obuwereza bwazo mu bitundu ebirala.

Ekitundu kya Busoga awamu, tekibaddeemu univasite ya gavumenti yonna.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *