Amawulire

Abakozi ba Kibuule 4 baakwatiddwa

Abakozi ba Kibuule 4 baakwatiddwa

Ivan Ssenabulya

May 14th, 2019

No comments

Bya Ritah Kemigisa ne Ivan Ssenabulya

Poliisi eriko abantu 4 begalidde abakozi mu maka ga minister ow’amazzi era omubaka wa Mukono North Ronald Kibuule, ku byekuusa ku baana be abalongo abagudde mu kidiba ekuwgirwamu, nebabuuka.

Abaana Ramon Kato ne munne Raiding Waswa baagudde mu kidiba, ekiwugirwamu e Mbalala, Mukono.

Kati omwogezi wa polisi mu Kampala nmiraano Patrick Onyango aakwate agambye nti kuliko Scovia Nalubwama owemyaka 32 ne Peace Nankunda owa 23 nga bano babadde ba yaaya mu maka.

Abalala kuliko Lawrence Kabaya owemyaka 33 abadde alaongoosa nomukuumi Agripa Kumanya.

Onyango agambye nti bano baaguddwako omusango gwokulagajalira emirmu gyabwe, nga era baakuyambako mu kunonyereza okugenda mu maso.

Ate abakungubazi beyiye mu maka ga minister ono Ronald okwetaba mu kusaba, okutegekeddwa aggulo lino.

Eno omumyuka w’omukulemeze we gwanga Edward Kiwanuka Ssekandi, yakulembeddemu abakungu ba gavumenti, nabatuuze ng’omukungubazi omukulu.