Amawulire

Abakozi ba gavumenti bateekateeka kusulawo tawulo

Abakozi ba gavumenti bateekateeka kusulawo tawulo

Ivan Ssenabulya

December 2nd, 2019

No comments

Bya Prossy Kisakye, Abakozi ba gavumenti abegatira mu kibiina ki Uganda Government and Allied workers’ Union batiisatiisiza okuteka wansi ebikola singa gavumenti tetereeza butali bwenkanya mu misaala gyabwe.

Bwebabadde bogerako eri bannamawulire mu kampala, bano nga bakulembedwamu sentebe waabwe, Christopher Kahirita bategezeza nti waliwo obutali bwenkanya bwamaanyi nyo mungereka yemisaala gya bakozi ba gavumenti obulina okuterezebwa mu bwangu.

Ono awadde ekyokulabirako ekya abakulira abakozi ba gavumenti mu zi-disitulikiti, ba tawuni kiraaka, na bakola kunsonga za bakozi nti sente bakuna kumpi Makati gaabo bebakozesa.

Kahirita agamba nti kino kibamalamu nto amaanyi agakola emirimu gyabwe ne batuuka nokukemebwa okulya enguzi ekintu ekitali kirungi.