Amawulire

Abakosebwa olwa SGR e Mukono bawadde gavumenti emyezi 4 okubaiyirirra

Ivan Ssenabulya

February 26th, 2021

No comments

Abatuuze 136 ku kyalo Kigombya mu district ye Mukono abalina ettaka nebibanja, awagenda okuyita, oluguudo lw egwaali yomukka olwa Standard Gauge Railway bawadde gavumenti emyezi 4 okuba nga basasudwa, bwekinagaana baaakuddamu okukozesa ettaka lyabwe.

Bano bagamba oluvanyuma lwabakunga okuva mu SGR mu 2016 okulambula ebitundu byabwe, tebadda onga babategeza nti buli kimu kyebabadde bakolera mu bifo bakiveeko.

Mu lukiiko lwebatuziza, nga lukubirizibwa ssentebe we kyalo James Mujunga bategezeza nga webawadde gavumenti ssalessale oyo ebeeko kyekola.

Omuwandiisi wenkalakalira ministry yenguudo n’etambula Waiswa Bagaya agumizza abatuuze bano, nti balinze minisitule yebyensimbi okukakasa okubalirira kwebakola, balyoke babasasule.

E Mukono SGR ejj kuyita mu gombolola okuli Goma, Mukono central Division, Nagojje ne Nama.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *