Amawulire

Abakola obusubuzi ku mutimbagano bagala Facebook

Abakola obusubuzi ku mutimbagano bagala Facebook

Ivan Ssenabulya

March 25th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Ab’ekigaana abakola obusubuzi obwokumutimbagano, E- Trade Association bakubidde gavumenti omulanga eggulewo Facebook nokudirirza ku budde bwa kafwi.

Bwabadde ayogera ne bannamawulire mu Kampala ssenkulu wa kampuni ya Jumia Uganda Ron Kawamara agambye nti okuva omukutu gwa Facebook lwegwajibwako, nabakola obuguzi nobutunzi ku mitimbagano bakosebwa.

Kino agambye nti kyakugira abantu bangi era bakendeera, ngasabye nti wakiri kafwi bandimutadde ku ssaawa 5 ezekiro kisobozese abantu okukola emirimu gyabwe awatali kubugutana.

Yye, omu ku batandisi ba Safe Boda Ricky Thompson akukulumidde gavumenti ku kyokulagira boda boda okukoma ssaawa 12, nga kirina engeri gyekibaboola.