Amawulire

Abakazi ba FDC bakwekalakaasa

Ivan Ssenabulya

May 21st, 2018

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Abekiwayi kyabakyala mu kibiina kya FDC bazeemu okubanja gavumenti, obwenkanya ku kiwamba nekitta bantu omuli nabakyala mu gwanga.

Bano batongozza kawefube gwebatuumye “ekimala kimala” nga bategese nokwekalakaasa okwemirembe nga 21st June mu kibangairizi kya ssemateeka wano mu Kampala.

Bwabadde ayogera ne banamwulire ku kitebbe kyekibiina e Najjanankumbi mu Kampala, omwogezi wekiwayi kyabakyala amu kibiina Sarah Eperu ategezeza nti batandise okukunga abazadde nabakyala bonna okwetaba mu kwekalakaasa kuno okunasuula nemiti waddenga kwa mirembe.

Ebiralala ebitegekeddwa olwenkya bagenda kusabira aba family zabagenzi nga bweze nti era balina entekateeka okutambula okutuuka ku kitebbe kya poliisi e Naguru, nga bgala kusisnkana ssbapoliisi we gwanga.

Bino webijidde ngbakazi abasoba mu 30 bebatemuddwa okuvira ddala mu July womwaka oguwedde, songa embalabe yameze ku jjutte ekiwamba bantu bwetusse.

Wabula poliisi ezze egamba nti okunonyererza kugenda mu maaso songa waliwo nabantu abakwatiddwa nga bekuusa ku bikolwa bino.