Amawulire

Abakazi abatunda amagumba g’ebyenyanja babakutte

Abakazi abatunda amagumba g’ebyenyanja babakutte

Ivan Ssenabulya

February 26th, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwoga

Poliisi e Kabale eriko abakazi 6 begalidde, nga kigambibwa nti babaddenga batunda emmere atenga baliko ebirala byebajitabuddemu.

Bano babakutte okuva mu katale ka Kabale central market, nga poliisi egamba nti babasanze nebyenyanja ebisiike nga babisizeeko ebintu ebiralala.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kye Kigezi, Elly Maate agambye nti abakzi bano bwebakanyizza bakirizza nti babaddenga basiiga engaano ku magumba gebyenyanja, nebifanana ngebyenyanja songa magumba merere.

Amagumba gano babaddenga bagatunda 500, ngabanatu bebekubidde enduku ku bakyala bano.

Abakwate kuliko; Anjela Kyarimpa owemyaka 42, Mary Tushabe wa myaka 29, Doris Ndyamuhaki 25, Constance Kukundakwe 26, Clare Amutuhire ne Tumwebaze nga bonna batuuze mu munisipalai ye Kabale.

Poliisi etegezezza nga bwebagenda okuvunanibwa.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *